Bya Prossy Kisakye, Poliisi y’e Nakyessa mu gombolola y’e Kayonza mu disitulikiti y’e Kayunga ekutte omusajja ow’emyaka 40 ku bigambibwa nti yasobeza ku bawalabe 2.
Kitegerekese nti omwana omu wamyaka 2 ate omulala w’amyaka 7, nga maama w’abaana bano Hasifa Penina yabadde agenze mu nnimiro
Penina anyonyodde nti yagenze okudda nga bamugamba nti bba atute baana bagulira nva, wabula bwebakomyewo tebalina kyebaze nakyo, olwababuuziza omwana omukulu nabategeeza nga bwegwabadde.
Ono asabye abazira okumuyambako okujanjaba abaana be.
Akulira ebyokunonyereza ku poliisi ye Nakyessa Egesa James akakasiza okukwatibwa kwa taata w’abaana.
Bbo abaana betusanze ku police e Nakyessa batubulidde nti taata waabwe ya balimba nti bagende naye abagulire eky’okulya n’oluvanyuma nabeefulira.