Bya Shabibah Nakirigya.
Company enkozi y’enguudo eya China Communications Construction Company etegeezeza nga bwegenda okuwaayo ekiwayi ekisooka eky’oluguudo olwa Entebe express highway eri ekitongole ky’ebyenguudo omwezi ogujja nga kino kiriko obuwanvu bwa 51.4km.
Bweyabadde alambula oluguudo luno, ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ekya UNRA Fred Omach agambye nti company eno eya CCC egenda kusooka kubakwasa ekitundu okuva e Busega to Mpala, ku luguudo lwe Entebbe ate ekitundu ekisigaddeyo ekigatta Mpala ku kisaawe kye Entebe kyekinasembayo nga zino ziri km nga 12.
Omach agamba nti okulwawo kw’ekitudu kino kivudde ku government kulwaayo kuliyirira bantu abali kutaka awagenda okuyita oluguudo luno, kale nga omulimo gukyesibye.
Kizuuse nga kubatuuze abawerere dala 4,500 abalina okuliyirirwa, 3,100 bebakakolwako.
Okukola oluguudo luno kwatandika mu November 2012 nga lwalira kuggwa mu 2017 , kyoka kati ensonga zakyukamu , okulumaliriza kusubirwa mu May 2018.