Bya Ssamuel Ssebuliba.
Police ekola ku biduka wano mu kampala ekakasizza nga omugoba wa bus eya companye eya Divine Coaches bwakwatiddwa, nga ono yaagambibwa okukoona omuserikale wa traffic wano ku Lubaga Road n’amutta.
Omukwatte ategerekese nga Godfrey Kakonge , nga ono akukunuddwa Kyetume mu Kyazanga, gy’abadde yekwese
Ono yagambibwa okuvuga bus eno mungeri ey’ekimama okukakana nga akoonye Corporal Wilfred Tweituk-namutta.
Twogedeko n’ayogerera Police y’ebiduka Charles Ssebambulide , n’agamba nti ono weyaddiza omusango yali avuga bus number UBA 684T, era olwamala okuza omusango n’adduka