Bya Ben Jumbe.
Abasubuzi bawano mu kampala bawadde government obutasukka nga April 10th nga bakoze ku nsonga zaabwe oba sikyo bakwekalamula.
Bano abeegatira mu kibiina kyabwe ekya KACITA bagamba nti bagenda kuggala amaduuka gaabwe mu bwangu dala ate batambule nga boolekera offize zebagamba okubalemesa ekibuga
Twogedeko n’ayogerera KACITA Isa Ssekitto, nagamba nti emisolo gifuuse emisolo, ensimbi z’obupangisa zisusse, songa n’abasubuzi abagwira abajja mu uganda beyongedde, kale nga government erina okubaako kyekola.