Bya Ben Jumbe.
Kikasiddwa nga ababundabunda abayingira mu uganda okuva mu gwanga lya lya South Sudan bwebaatandise okujja n’emundu , ekigenda okuteeka eby’okwerinda mu katyabaga
Bino bizuuliddwa omukugu mu kunonyereza Dr. Ronald Kalyango, bwabadde eyogerako eri abakulembeze mu district ezibudambye ababundabunda bano.
Kati bwabadde afulumya alipoota ku bizibu abakulembeze by’ebasnga nga bakolagana n’ababundabunda bano, Dr Kalyango agambye nti eby’okwerinda mu bitundu bino biri mu katyabaga, kubanga bano akadde konna bayinza okutuusa obulabe ku batuuze, oba bbo benyini okwetta.
Kati ono awabudde nti ekyamangu kiteekeddwa okukolebwa okukakanya embeera eno, songa n’obuyambi obulala nga emere, ko n’ebyenjigiriza bigwana okuweebwayo eri district zino.