
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba ssabasajja okulekerawo okukaaba ebizibu wabula bakole okusobola okwekulakulanya.
Bino Katikkiro abyogeredde mu ssaza lye Buddu gy’abadde akunganya ettoffaali ng’eno yakunganyizza obukadde obusoba mu 50.
Mungeri yeemu Katikiro atabukidde bannabyabufuzi abafuuse kyesirikidde ku nsonga za Buganda sso nga bandibadde bazisosowaza okuzza Buganda ku ntikko.
Katikkiro wakugenda mu maaso n’okusonda ettoffaali mu bifo ebyenjawulo mu tawuni ye Masaka.