Mu disitulikiti ye sembabule waliwo omusajja ow’emyaka 35 atomeddwa mmotoka emutiddewo yo n’ebulawo.
Isaac Matovu omutuuze ku kyalo Lugusulu v y’atomeddwa mmotoka etategerekese namba ebadde eva e Lugusuulu nga edda Kyabi.
Okusinziira ku berabiddeko n’agaabwe, Matovu atomeddwa nga asala oluguudo bw’abadde ava ku dduuka .
Atwala poliisi y’ebidduka mu kitundu kino James Tebaijuka agamba poliisi ekyali ku muyiggo gwa dreeeva akoze akabenje kano era n’alabula abavuzi b’emmotoka bonna okugondera amateeka gokunguudo.