By Abubaker Kirunda.
E Iganga Police eriko omulambo gw’enyuludde okuva mu kitoogo,kye Nabidongh mu Iganga Munisipali nga guno gw’amusajja ateberezebwa okubeera n’emyaka nga 22.
Ayogerera police eya Busoga East police James Mubi agambye nti omugenzi ayinza okubanga yattidwa okuva mu kitundu ekirara , kyoka omulambo negusulibwa e Iganga
Mukaseera kano omulambo gutwalidwa mu gwanika nga okunonyereza kwa police bwekutandika.
Era mu kitundu kyekimu, e mayuge waliwo omulambo gw’omwana ateberezebwa okubeera n’omwaka nga gumu n’ekitundu ogusangiddwa nga gusuliddwa mu kitoogo mu Mayuge Town Council.
Omugenzi ategerekese nga Shadruck Mwesigwa mutabani wa Alex Maganda ne Rose Namukose nga bano batuuze be Kavuule Mayuge Town Council
Okunonyereza okusooka kulaze nga omwana ono bweyatwaliddwa amataba, era nga bazade baludde ebanga nga bamunoonya
Akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisago mu bitundu bino Abdallah Nasser Mulimira akakasizza ebibadewo.