Bya Samuel Ssebuliba.
Speaker wa parliament ye gwanga Rebecca Kadaga asabye asabye abagirizi b’obuyambi okutandika okuteeka ensimbi mu project ezigenda okugasa abakyala, kibayambe okwejja mu bwavu.
Kadaga bino abyogeredde mu kibuga Newyork ekya America gyali mu kaseera kano okweta mu lutuula lw’akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte olwogera ku nsonga zabakyala.
Kadaga agamba nti ebibiina okuli ne banka yensi yonna olumu bava kumulamwa sente nebaziteeka mu bintu ebitagasa muntu waawansi , songa abakyala betaga okufiibwako , ko n’okuteeka ku mwanjo.
Kati ono agamba nti okuva nakaakano bano bagwana bakulembeze pulojekiti ezigasa abakyala, kubanga era bwewetegereza beebasinga obungi, naye mpaawo abafaako.
Ku lugendo luno kadaaga yeakulembedemu ekibinja kyabakungu ba government eb’enjawulo okuli ne minister akola kikula kyabantu Janat Mukwaya