Bya Ruth Anderah
Lord Mayor wa Kampala Elias Lukwago awalabanyizza minister wekibuga ekikulu Kampala, Betty Kamya Turomwe okumutwala mu kooti enkulu ngamunenya okuyingiriranga emirimu gyolukiiko lwe olufufuzi olwa executive nokubatyoboola.
Lukwago agamba nti obuyinza bwe nabakaulembeze abalala abalonde buwambiddwa, oluvanyuma lwa Mukyala Kamya okuyingirira emirimu gyabwe.
Ono agamba nti nga 23rd January 2018 minista yasalawo okuyimiriza enkiiko zekibuga, songa eno ebiteeso gyebiyita.
okusinziira ku mpaaba ye agamba nti Kamya yesigama ku nsonga nti enkiiko zino teziri mu mateeka, Lukwago kyagamba nti kya bwewussa.
Lukwago kati ayagala kooti yebeera eyimiriza nokujjawo ekiragiro kya minister Betty Kamya kubanga yalina obuyinza okutuuza nokuyita enkiiko.
Lukwago era ayagala ebiragiro ebiakaka minister okusaawo akakiiko aketegekera ekibuga, nti obutabaawo bwako buvuddemu ebizibu bingi.
Lord Mayor ayise mu kampuni ye eya Lukwago and company advocates, okuloopa ensonga zino mu kooti.