Skip to content Skip to footer

Ebirubirirwa eby’enkulakulana eyanamaddala byakutukirizibwa.

Bya samuel ssebuliba.

Olunaku olwaleero government etongozza entekateeka enagobererwa okutukiriza ebirubirirwa eby’enkulakulana eyanamaddala biyite sustainable development goals wegunaakonera omwaka 2030.

Kinajukirwa nti entekateeka eno atambulira kumulamwa ogugamba nti teri kuleka muntu mabega.

Bwabadde asoma entekateeka eno, omuwandiisi ow’enkalakalira mu wofiisi ya Ssabaminista Joel Wanjala agambye nti kawefue ono ayawudwamu emirundi 5 , nga kaakano ministry ez;’enjawulo n’ebitngole bya government buli kumu kyakugabanaako kyekigenda okutuukiriza.

Ono agambye nti ebitongole nga ekya National planning authority abategekera egwanga bakwesiba ku kyakukwanaganya birubirirwa bino, office ya ssabaminiter yakubeera lutindo wakati waabonna, aba Uganda bureau of statistics bakukola ku byabiwendo, ministry ey’ebyensimbi yakukola ku byakuvugirira kko nabalala

Ebimu ku byanokolwayo kuliko okukomya obwavu mu bantu, okukomya enjala, eby’obulamu ebirungi, abantu okufuna eby’enjigiriza eby’omutindo n’ebiralala.

 

Leave a comment

0.0/5