Bya samuel Ssebuliba
Elli Matte ayogerera Police ye Kigezi.
Police e Kisoro ekutte abantu 4 nga bano bateberezebwa okubaako kyebamanyi kukuttibwa kw’omukazi ow’e myaka 25.
Eyatibwa etegerekese nga Malideniyo Santurina omutuuze we Bugomora mu Kisoro district
Okunonyereza okusooka kulaze nga omukyala ono bwaludde nga abuze kati sabiit 2, kyoka abatuuze bagenze okumusanga nga yattibwa n’asulibwa mu kyaloKigeyo.
Ayogerera police yeeno Elli Matte agambye mukaseera kano bakutte abantu 4, nga bano bebaasemba okulabibwako n’omugenzi.
Kwo okunonyereza kwa police kutandise.
