Skip to content Skip to footer

Ebya Kadaga-Namuganza bigwana mu kibiina

Bya Sam Ssebuliba

File Photo: Mike Mukula

Eyali omubaka wa palamenti owa minisipaali eye Soroti Captain Mike Mukula asabye akakiiko ka palamenti, akakwasisa empisa, ebyokunonyereza ku nkayana wakati wa spiika Rebecca Kadaga ne minister webye ttaka Persis Namuganza, babimme amazzi, wabula babisindike mu bukulembeze bwekibiina kya NRM.

Bwabadde alabiseeko mu kakiiko kano, Mukula agambye nti bano bakulembeze bakibiina kya NRM, kalenga batekeddwa okugonjoola obutakanya bwabwe munda ngabenda emu.

Ategezeza nti kinaaba kizibu palamentri, ekulemberwa ate okugonjoola obutakanya buno, kubanga enkima tesala gwa kibira.

Agambye nti ssi gwegusoose, nga waliwoko nobutakanya wakati wa Amama Mbabazi ne speaker Kadaga, Amama Mbabazi ne Kahinda Otafiire, wabulanga bwagonjoolwa munda mu kibiina.

 

Kko akakiiko ka palamenti akakwasisa empisa, kakyagenda mu maaso okuwuliriza abjulizi abanjwulo, ku ndoliito zino.

Leave a comment

0.0/5