Skip to content Skip to footer

Okuwandiisa aba LDU bakwongezaayo emyazi 4 mu maaso

Bya Joseph Kato

Egye lye gwanga erya UPDF liyimirizza okuwandiisa aba LDU okumala ebbanga lya myezi 4.

omwogezi we gye lye gwangaeryoku ttaka Maj Henry Obbo, agambye nti kino kikoleddwa, okusooka okutendeka bebawandisizza omulundi ogwasooka nogwokubiri aba LDU 6,436.

Bano kati bagenda kutendekebwa mu bukodyo obwekinamagye ku ttendekero lya Oliver Tambo Military Training School e Kaweweta, mu district ye Nakaseke.

Kinajjukirwa nti President Museveni yalagira bakomyewo aba LDU emitwalo 2 mu 4,000 okulwanyisa obumenyi bwamateekamu kibuga naddala obutemu.

Maj Obbo agambye nti aba LDU bano, bonna bakubateeka mu mawulire, abantu babalabe.

Leave a comment

0.0/5