Skip to content Skip to footer

Goonya 2 zikwatiddwa

Bya Abubaker Kirunda

Goonya 2 nga zizitowa kiro 150 zikwatiddwa abatuuze mu district ye Buyende ne Kaliro.

Goonya emu ejiddwa ku mwalo gwe Kikayi mu nyanja Kyoga mu district ye Buyende ate endala ejiddwa ku mwalo gwe Nakisenyi mu gombolola ye Gadumire mu district ye Kaliro.

Akulira ebyobuvubi mu district ye Kaliro, Patrick Ojwanga agambye nti abatuuze bakozesezza miguwa okuzikwata.

Wabula oluzikutte tebazisse, naye baziwaddeyo eri Uganda wild life authority.

Leave a comment

0.0/5