Bya Kato Joseph
Poliisi mu Kampala ebakanye nomuyiggo ku kibinja kyabavubuka, abagambibwa nti bayimbulidde abasirikale baabwe embwa ababadde bakuuma ku Qualicel Bus Terminal.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire, agambye nti abavubuka bano babadde ngamakumi 30 oluvanyuma lwekiragiro kya koooti okuva mu kitundu kino ekirko enkayana, okukyamuka okukirekera omugagga Charles Muhangi.
Wabula agambye nti mu kiro ku Bbalaza, abavubuka bano nga bebagalidde ebittittiriri nembwa enkambwe balumbye nga babanja lwaki poliisi ekyakuuma ekifo kino.
Eno abagagga Muhangi ne Drake Lubega bakayanira ekitundu kino.
Wabula poliisi yabakubyemu omukka ogubalagala nebabuna emiwabo.
Tewali noomu yakwatiddwa naye poliisi egamba nti omuyiggo gugenda mu maaso.