Skip to content Skip to footer

Abakomyalo batidde nti balabika bagudde ebigezo

Bya Gertrude Mutyaba, Ivan Ssenabulya ne Magembe Sabiiti

Abayizi b’ekibiina eky’omusanvu abaafuna okutaataganyizibwa ku myalo oluvannyuma lw’amagye okubagobaganya mu district ye Kalungu beeraliikiridde nti baandiremererwa okuyita ebigezo olwokuba bazadde babwe bgobwa nebatataganyizibwa, ngokusoma kubaddenga kuzibu.

Abayizi betwogeddeko nabo okuva ku St Joseph Kalangala Primary school ne Lyna Infant’s bategeezezza nga bwebasanze akaseera akazibu okuddamu ebibuuzo nga abasomesa bebanonyezza abayizi bano okubasobozesa okukola
ebigezo byabwe eby’akamalirizo.

Ate abayizi bekyomusanvu, ebigezo ebyakamlirizo babimalirizza olunnaku lwe ggulo.

Tutuuseko mu bifo ebimu abayizi gyebakoledde ebibuuzo bino mu district eye Mukono.

Akulira eby’enjigirizza mu district ye Mukono Balaza Vicenti agambye nti ebigezzo byatambudde bulungi.

Bbo abasinga ku bayizi balina essuubi, nti bakuyita.

Abakulira ebyenjigiriza mu district ye Mubende balajanidde government okulaba nga  elwanyisa ebikolwa eby’okugobaganya nga  abantu ku ttaka kuba  kivirideko ebyenjigiriza okusereba mu kitundu kino era nga abaana bangi tebatakola bigezo byakamalirizo.

Akulira ebyenjigiriza mu district ye Mubende Kayiwa Benson agamba nti okunonyereza kwebakoze kulaga nga abaana bangi tebakola bigezo bisembayo mu kibiina eky’omusanvu NE  S.4 nga kiva ku bazadde okugobebwa ku ttaka nga bwekibadde nekumulundi guno .

Leave a comment

0.0/5