Skip to content Skip to footer

Abakungu ba district ye Lirwa batwaliddwa ku poliisi

Bya Ben Jumbe

Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti akazibwako erya COSASE kawaddeyo abakungu ba district ye Lira, ababadde beyanjudde gyekali amakya ga leero eri poliisi.

Kino kidiridde bano okwogera ebitakwatagana, ku kisaawe kya Akii Bua stadium ekyazimbibwa, wabula omugambibwa okwonenekera ensimbi yomuwi womusolo bulindo na bulindo.

Ababaka abatuula ku kakaiiko kano bawunukiridde okwulira nti bano, bazimba ekisaawe nga tebalina plana zabakugu.

Omubaka Moses Kasibante yaleese ekiteeso nti bano, ababadde bakulembeddwamu CAO Mark Tivu, batwalibwe ku poliisi.

Gyebuvuddeko egwanga lyawawaala okuwulira nti ekisawe kino kyamalawo obukadde 600, songa kijuddemu muddo kabuyonjo nekidaala ekye bbaati.

Leave a comment

0.0/5