Skip to content Skip to footer

Lumumba asabye obumu mu kibiina

Bya Benjamin Jumbe

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

Ssabawandiisi wekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba asabye wabeewo obumu mu kibiina, nokukomya okwogera kuno na kuli.

Bino abyogeredde mu Jinja East gyabadde agenze okunonyeza  Nathan Igeme Nabeta akalulu mu kwetegekera akalulu akokuddibwamu akabindabinda.

Eno sabye abaayo okukola enkalala ezaabo abakoseddwa, nga kigambibwa nti abamu ku bana-NRM baatulugunyibwa aba FDC kyokka nebatayambibwa poliisi.

Eno ssentebbe wekibiina kya NRM mu district ye Jinja Kato Kaziba anokoddwayo ebintu eyenjawulo ebikoleddwa, ebigenda okubatuusa ku buwanguzi mu kulonda kwa 15 March.

Leave a comment

0.0/5