Ebyobulamu

Abaana balongoseddwa emitima

Ali Mivule

October 28th, 2013

No comments

heart

Obulwadde bw’emitima

Abaana 20 beebalongoseddwa emitima mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Abaana bano balongooseddwa ku bwereere ekibinja kya basawo abawerede ddala 40 nga bano babadde bayiga kulongoosa kw’ekika kino.

Kawefube ono bannaRotary  eya kampala mu bukiikakkono nga bali wamu n’ekibiina kya Gift of life beebamusakiridde

Minisita akola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza nga kawefube ono w’okutandika okulongoosa abantu bano wakuyamba okutaasa obukadde n’obukadde bw’abantu abatalina nsimbi zibatwaala bweru kulongoosebwa

Yye akulira eddwaliro ly’emitima e Mulago Dr John Omangino agamba nti eggwanga lisasanya obukadde 20 obwa doola  mu kutambuza abalwadde b’emitima.

Buli mwaka abaana abali mu mutwalo beebazaliibwa n’obuzibu ku mitima

Ebitundu 60 ku bano basobola okulongoosebwa ne batereerea