Amawulire

Abasomesa be Kyambogo bazzeemu

Ali Mivule

October 28th, 2013

No comments

Kyambogo

Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo baweze okutanula okwekalakaasa , singa amyukassenkulu’w’ettendekero lino agezaako okulinya ekigere ku tendekero lino.

Kino kisaliddwaawo mu lukungaana lw’abasaomesa bano ,oluvanyuma lwa kooti ye Nakawa okulagira Isaiah Omolo Ndiege adde ku mulimu.

Abasomesa bano bategezezza nti kooti y’asazewo nga okunonyereza tekunaggwa kale nga Ndiege tageza n’alinya ekigere ku tendekero lino.

Gyebuvudeko abakulira ettendekero basindika Ndiege mu luwummula olukake  nga bamulanga kuddukanya bubi ttendekero lino.