Bya Samuel Ssebuliba.
Minister atalina mulimo gwa nkalakalira Hajji Abdul Nadduli alabudde banakisinde kya People power okwanguwa bawandiise ekisinde kyabwe nga ekibiina mukifo kyokwerimbuka mu byokuyimba.
Nadduli agamba nti omubaka we Kyadondo East ono Robert Kyagulanyi agwana akome okuyita mu bikolwa ebyefujjo okulaga kyayagala , kale nga alina okukakanya ku mawaggali alyoke aweebwe ekitiibwa kyayagala.
Ono agamba nti kano keekadde Bobi Wine okubeera omulambulukufu awandiise ekibiina kya people power, olwo alyoke akuumibwa abateeka agalambika ebyobufuzi.