Bya Shamim Nateebwa
Abatuuze mu zone ye Kamwokya 1 balajanidde gavumenti okubaterawo obunjabi bwebisolo obwobwerere, ku malwaliro ga gavumenti.
Bano bagamba nti abantu bangi abalina embwa mu maka gaabwe wabula balina okutya, obanga ddala ngeme.
Bano bagamba nti mbwa zino zandiruma abantu nebalwala.
Kansala omukyala owekitundu kino Lukia Nampeela, agambye nti kino osanga kinabayambako bageme ebisolo byonna mu kitundu.
Ebibalo okuva mu kitongole kya KCCA biraga nti Kampala alimu embwa emitwalo 2, nayenga 6,000 zezitaliiko alabirira zitayaya mu bitundu ebyenjawulo.