Skip to content Skip to footer

Omwana owe nnaku 2 awawabidde eddwaliro

Bya Ruth Anderah

Omwana owe nnaku ebbiri awalabanyizza eddwaliro lyobwananyini, ppaka mu mbuga ezamateeka, olwobulagajjavu bwebaali bamukuba eddagala ekyaviriddeko nomukono okulemala.

Gabriel Emma mutabani wa Emma Aulo mu mpaaba ye agamba nti nga 3rd March, 2018 ku ddwaliro lya, Doctor’s Hospital gyebamujanjabira.

Maama womwana ono agamba nti yazaala omwana ono wabula wakati mu kumujanjaba waliwo omusawo eyamukuba obubi empiso ku mukono.

Bano baayise mu banamateeka baabwe aba Okecha Baranyanga advocates, nga bagala babaliyirire obukadde 5.

Leave a comment

0.0/5