Bya Malikh Fahad
Poliisi mu distrct ye Sembabule, ebakanye nomuyiggo ku musamize, agambibwa nti waliwo omuntu eyafiridde mu ssabo lye.
Bino bibadde ku kyalo Kyaluwanya, mu gombolola ye Katwe mu distrct ye Sembabule.
Okunonyereza kwa poliisi okusooka, kulaze nti omugenzi, Specioza Katusabe yagenze mu ssabo, okumujanjaba ekirwadde, wabula nafirayo.
Poliisi egamba nti, waliwo omu ku boomu ssabo, eyabatemezaako, era nebalizinda.