Skip to content Skip to footer

Kattikiro ajjukizza Obuganda ku kusomesa Abaana

Bya Shamim Nateebwa

Abayizi abali mu 1, 482 batikiddwa mu masomo agenjawulo, nebaweebwa zzi Diploma ne Certificate, oluvanyuma lwokukuba oluku mu mutwe, emisomo gyabwe, ku ttendekero lya Buganda  Royal institute of Business  and Technical Education e Mengo.

Gano gemattikira agomulundi 13th, okuva ettendekero lyobwakabaka lino, litandikibwawo.

Kati mu bubaka bwe Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayozayozezza abayivu bano, era nasaba abazadde bakomye, okusosowaza ebintu ebitagasa, nebabitekamu ssente, ate neberabira okusomesa abaana.

Amattikira gano, getabiddwako ne minister owebyenjigiriza mu mu bwakabaka bwa Buganda, Owek. Dr. Twaha Kaawaase.

Ku bayizi 1,482 abatikiddwa abayizi 614, bababdde bawererwa mu ntekateeka ya Beene eya Kabaka Education Fund.

Abayizi 676 balenzi atenga 806 female bebobuwala.

Leave a comment

0.0/5