Skip to content Skip to footer

Asobezza ku muwala we

Bya Magembe Sabiiti

Poliisi mu district ye Mityana ekutte taata agambibwa, okukira muwala we gweyezaliira, ow’emyaka 12 namusobyako.

Omukwate aweza emyaka 45 nga mutuuze ku kyalo Galabi, mu division ye Ttamu mu munispaali ye Mityana.

Omwogezi wa police mu tundutundu kya Wamala Nobert Ochom akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono, nga kati akumirwa ku police e Mityana wagenda okujibwa okumutwala mu kooti.

Leave a comment

0.0/5