Bya Magembe Sabiiti ne Ivan Ssenabulya
Entiisa ebutikidde ekyalo Gayaza mu South division, e Mubende omukazi abadde agende okusena amazzi bwagudde mu Dam nafirawo.
Omugenzi ye Nakiyinji Justine ngomulambo gwe gulabiddwa omu ku batuuze abadde agenze okusena amazzi, natemya ku batuuze.
Police enyuluddeyo omulambo guno negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu okwekebejebwa.
Ate poliisi mu district ye Kapchorwa etandise okunonyereza ku nfa yomusajja, naye asangiddwa ngatengejjera ku mugga.
Omugenzi ye Masai Eric, ngabadde mutuuze mu gombolola ye Kapsinda, nga kisubirwa nti yabadde agenze kuwuga.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi Roger Taitika, agambye nti batandise okunonyereza.