Bya Ivan Ssenabulya ne Kyeyune Moses
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akebyenjigiriza, batadde ku nninga omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Makerere Prof Banabas Nawangwe, okunyonyola engeri eya kyekubiira, mu kulondanga abakozi.
Akakiiko kayaita Nawangwe okunyonyola, ku vvulugu agambibwa okwetobeka mu nzirukanya yemirmu, ekisanyalaza nebyokusoma absomesa bwebassa wansi ebikola.
Omubaka wa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu, anokoddeyo olukiiko olwa senate ngabasajja bakola 83 % ate abakazi 17% kalenga abakazi bangi babaleka bbali.
Akakiiko kano kanonyereza ku kugobwa kwabasomesa, oluvanyuma lwokwemulugunya okwenjawulo okuli nabayizi.
Wabula abakulu ku ttendekero bategezezza akakiiko nti, obuzbu buli ku tteka erungamya amatendekero aga waggulu kubanga lilimu emiwaatwa.