Bya Damalie Mukhaye
Ministry yebyenjigirza nemizannyo etegezeza nga bwemalirizza, entekateeka zkukyusa abasomesa, abaludde ku masomero, basindikibweko awalala.
Kino kidirdde okwemulugunya okuva mu bukulembeze bwazi gavumenti ezebitundu, ebyenjawulo nti waliwo abasomesa abaludde ku masomero, nayenga tebakyakola bulungi mirimu gyabwe, eranga tebakwatwako olwokuba baludde nnyo masomero ago.
Bwabadde ayogerera mu kusnsula abayizi abanasoma S5 mu kibangiriz kyamakolero ku UMA e Lugogo, omuwandiisi owenkakalira mu ministry Alex Kakooza, agambye nti bavuddeyo nolukalala lwabo bebagenda okukyusa, naddala ababdde ku ssomero limi kyenkana okumala emyaka 20.
Enkyukakyuka zino era zaakukola kubawandiisi, ba baasa nabalala abaludde ku masomero gegamu, nga tebakyusibwa.