Amawulire
Abasuubuzi ku Nasser beekalakasizza
Oluvanyuma lw’abasuubuzi b’okuluguudo lwa Nasser Road okwekalakaasa amakya galeero, ekitongole kya masanyalaze ekya UMEME kirabuddwa obutalinda nga bantu kwekalakaasa okukola ku nsonga zaabwe.
Adumira poliisi y’omu bukiikakkono bwa Kampala Mike Mugabi agamba bbo nga abalondoola obutebenkevu n’ebyokwerinda kibabeerera kizibu okuyingira mu nsonga nga zino eziyinza okuggwa ng’abantu tebeekalakaasizza.
Ono aweze nti poliisi si yakuva mu kifo kino okutuusa nga aba UMEME bazizzaako amasanyalaze g’ekitundu kino era ga webuzibidde nga bakikoze.
Mu ngeri yeemu omusuubuzi omu ategerekeseko erya Maureen afunye ebisago abasuubuzi bwebabadde balwanagana ne poliisi bw’akubiddwa essasi mu kugulu.