Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni yatadde omukono ku tteeka erya National Environment Act 2019, lyalubiridde okukuuma obutonde bwensi.
Etteeka lino lyayisibwa mu November ku nkomerero yomwaka oguwedde.
Kino kikakasiddwa omuwandiisi womukulembeze w egwanga ku byamwulire, Linda Nabusayi ngatubuliidde nti etteeka lino lyatereddwako omukono, nga 24th February 2019.
Muno mwajiddemu ebibonerezo ebikakali okuli, okuwa engasi ya bukadde 10, nebiralala ngokusibwa emyaka 15 olwokutyoboola obutonde.