Bya Barbra Nalweyiso
Abayizi abasuka mu 30 ku somero lya Mityana Junior school ku kyalo Namukozi mu centeral division mu munisipaali ey’e Mityana balumbidwa ebiteberezebwa okubeera ebyokoola.
Okusinzira ku bazadde ku ssomero lino baludde nga bafuna okwemulugunya okuva mu bayinzi, nga bwewaliwo banaabwe abakwatibwa emizimu kati okumala omwezi mulamba.
Kati abazadde bavudde mu mbeera nebalumba omukulu we ssomero lino, Rev. Wilberforce Sseguya nebamulumiriza okubaako kyamanyi.
Abamubagamba nti alabika yeyaleeta ebyokoola bino.
Wabula amyuuka omubaka wa gavumenti e Mityana Isa Ntumwa agadde essomero lino, okumala ebbaganga eritali ggere basooke betegereze embeera.