Skip to content Skip to footer

Babakutte lwakulunda misota

Bya Shamim Nateebwa

oliisi ng’eyambibwako abatuuze eriko abasajja 2 bekutte ku bigambibwa, nti babaddenga balunda emisota n’ekigendererwa eky’okugitunda.

Abakwate ye Richard Kyomuhendo 30 ne Felix Begame 55, nga bapangisa ku nnyumba za Faisal Ssebadduka mu Kakungulu zooni mu munisipaali y’e Kawempe.

Okukwatibwa kiddiridde abatuuze okutegeeza ab’ebyokwerinda ku kyalo nabo abaategeezezza poliisi eyabakutte.

Kigambibwa nti bamaze ebbanga nga balunda emisota egy’ebika eby’enjawulo.

Abatuuze bagambye nti abadde ku bunkenke ng’abaana baabwe tebabaganya kwetaaya, olwokutya emisota.

Kati poliisi banoebagguddeko omusango gw’okubeera n’ensolo z’omu nsiko.

Leave a comment

0.0/5