Ebyobulamu

Abasawo bakwatiddwa e Sembabule

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

pateints stranded

Abasawo 12 beebakwatiddwa lwa kwepena mirimu

Kino kisanyalazza emirimu ku ddwaliro lye sembabule nga tewaliiwo basawo

Akuliddemu ekikwekweto, Swaibu Bagendana agamba nti bafunye okwemulugunya okutali kumu okuva eri abakozi olw’okugendanga mu malwaliro nga teri basawo

Ono agamba nti abasing okukosebwa beebakyaala b’embuto n’abalina obulwadde bwa mukenenya  abetaaga okulabirirwa n’okuweebwa eddagala naye nga tewali babakolako .

Wabula ate  wabaddewo katemba, abalwadde bwebalumbye poliisi nga bagaala abasawo bano bayimbulwe kubanga beebabadde babonaboona

Omu ku balwadde abadde akimye eddagala eriweweza ku bulwadde bwa mukenenya agamba nti ekisaliddwaawo okukwata abasawo kigenda kusajjula mbeera

Poliisi gyebigweredde ng’ewaliiziddwa okuyimbula abasawo bano