Skip to content Skip to footer

Abasawo abanajjamu embuto babaano

File Photo: Omusawo nga koola ku mukyala oli olubuuto
File Photo: Omusawo nga koola ku mukyala oli olubuuto

Minisitule ekola ku by’obulamu etendese abasawo abasoba  mu 7000 , nga bano bagenda kujanjaba bakyala abagyamu embuto nezibeefulira.

Tutegeezeddwa nti bano okutendekebwa kiddiridde naddala abawala okukulamu embuto nebamala nebeekekwa era bangi mu kino nebafa

Kamisona akola ku  by’okuzaala mu ministule eno Dr.Collins Tumwesigwire  atugambye nti newankubade mu mateeka ga Uganda okujjamu  embuto kimenya mateeka, bbo nga abasawo tebayinza kuleka bantu kufa

Bbo abasajja basabiddwa okuyamba ku bakyala baabwe okukozesa enkola za kizaala ggumba okwewala embuto ezitewalika.

Atwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo Dr. Ronald Kaye agambye nti abakyala bangi balemesebwa ba bbaabwe okukozesa enkola zino ekirese abakyala bangi nga bazesambye.

Leave a comment

0.0/5