
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi asiimye enteekateeka wamu n’obuganda okweyiwa obungi mu kisaawe e Namboole ku mpaka z’amasaza ez’omupiira ezakamalirizo ezaaliwo ku lw’omukaaga.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyemizanyo mu Buganda Herny Ssekabembe ,Omutanda atendereza abategesi olw’okukunga abantu mu bungi okweyiwa mu kisaawe e Namboole.
Omutanda era asiimye engeri abantu gyebatuzibwamu n’ategeza nti buli muntu yali asobola okumulaba obulungi, ekitali ku mikolo emirala gyeyetololwa abantu abangi
Nyinimu asabye ebitongole bya Buganda ebirala okukoppa enterkaterka eyabadde e Namboole, bagyikozese mu mikolo emirala.
Omupiira guno gwawangulwa essaza lye Ssingo bweyawangula Buddu ku goola 5:0.