
Mutabani w’eyaliko omukulembeze wa Uganda Godfrey Binaisa kkooti ejulirwamu emujjeko omusango gwokukabasanya omwana atanaba kwetuuka.
Francis Birungi Binaisa, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye be basazizzaamu ekibonerezo eky’okumusiba emyaka 12 egyali gimuweereddwa kkooti enkulu wano mu Kampala.
Binaisa yali yasingisibwa omusango gw’okukozesa omwana ow’emyaka 12, mu mwaka gwa 2012 era olw’okuba teyamatira na kibonerezo kya kkooti, yeekubira enduulu mu kkooti ejulirwamu nga awakanya ensala y’omulamuzi Rugadya Atwoki.
Abalamuzi abasatu bategeezeza nti Binaisa teyaweebwa lukusa lwa kwewozaako,wabula omulamuzi eyaguli mitambo yagenda maaso n’okuwuliriza omusango newakubadde munnamateeka Yunus Kasirivu nabalala bali baguvudemu.
Binaisa abadde mu komera e Luzira okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa leero.