File Photo: Binaisa ngali mu kooti
Mutabani w’eyaliko omukulembeze wa Uganda Godfrey Binaisa kkooti ejulirwamu emujjeko omusango gwokukabasanya omwana atanaba kwetuuka.
Francis Birungi Binaisa, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye be basazizzaamu ekibonerezo eky’okumusiba emyaka 12 egyali gimuweereddwa kkooti enkulu wano mu Kampala.
Binaisa yali yasingisibwa omusango gw’okukozesa omwana ow’emyaka 12, mu mwaka gwa 2012…
