
Ku kyalo Bunyagangasa mu disitulikiti ye Sironko,poliisi ebakanye n’omuyiggo gwa Taata akkidde omwana ow’emyaka 5 gyokka n’amutugga ekiso okukkakkana ng’amuse.
Agavaayo galaze nga James Jiga yabadde muganzi w’omukyala maama w’omwana ono, wabula bwebaafunyeemu obutakkaanya ekiruyi n’akimalira ku mwana.
Ayogerera poliisi ya Uganda Fred Enanga atubuulidde nti omusajja ono olumaze okuzza emisango n’adduka, wabula nga kaakano poliisi emunoonya.