
Poliisi ye Nsangi wano mu Wakiso eriko omukyala gw’eggalidde , nga ono emulanga ku lunga butwa mu mere okukkakkana ng’abantu babiri bafudde , ssonga bana bapookya.
Akwatiddwa ye Margret Babirye omutuuze we Nsangi ku kyalo Kivu, oluvanyuma lw’okujulira abaana be bataano emmere wamu ne kitaabwe wabula bano olwamaze okulya nebatandiika okusesema okukkakkana nga 2 bafiiriddewo .
Abafudde kuliko Ryan Kibika ow’emyaka 6 ne Shakira Nalunga ow’emyaka 11,ssonga abali ku ndiri kuliko kitaabwe Abas Seruwagi,Hassan Ssendagire ,Moses Kasirye ne Meddie Kabenge.
Mu kaseera kano omukyala ono ali mu mikono gya poliisi.