Kooti etaputa ssemateeka eragidde omubaka we Bukonzo East Yokasi Bihande Bwambale okwamuka palamenti era azze omusaala gwonna gw’abadde afuna.
Ono avunaanibwa kunyaga obukadde 20 ezaali ez’okukulakulanya ekitundu kye mu mwaka 2009-2010.
Tutegeezeddwa ng’abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma bwebakkaanyizza nti akageri kekiri nti kkooti ewozesa abalyake yakakasa nti Bwambale ono yalya ensimbi zino, mu kaseera kano kizibu okumwesiga okubeera omukulembeze.
Kinajukirwa nti mu 2012 waliwo omulonzi we Bukonzo Fred Businge eyatwala Bwambale mu kkooti ya ssemateeka ng’ayagala agobwe, kavuna yakkiriza nti yalya enguzi eno.