Kyaddaaki ekibiina kya NRM kitaddewo olw’okusatu luno ng’olunaku kwebagenda okulondera abakulembeze b’ebyaalo mu gombolola ye Rubaga wano mu Kampala.
Kinajjukirwa nti okulonda kuno kwayimirizibwa oluvanyuma lw’abantu abawerako okwemulugunya ku mivuyo egyetobeka mu kulonda kwonna, era nga mu kaseera kano akalulu kakubibwa ku kitebe kya NRM ezisangibwa ku luguudo lwe Kyadondo e Nakasero.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi alabudde abo bonna abeesimbyewo okwewalira ddala okuvuluga okulonda nga batikka abalonzi okuva mu bifo ebirala nga baagala okubba obululu .
Gyebuvuddeko abamu ku besimbyewo ku bifo ebitali bimu bazze beemulugunya ng’okwongezaayo okulonda kuno bwekwabayingidde enyo mu nsawo.
Bano kuliko Farida Mayanja ayagala eky’okukiikirira aba Rubaga South wamu ne Singh Katongole ayagala ekya Rubaga North.