Eyaliko meeya wa Kampala r Al- Hajji Nasser Ssebaggala alemereddwa okutwala ebyetaagisa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Ssebaggala olw’eggulo lwaleero abadde azizzaayo emikono gy’abantu abamusemba, wabula nekizuulibwa nti olukalala lwabadde aleese lubaddeko akabuuza
Wabula Ssebaggala atugambye nti abantu be mu kaseera kano bakola kyonna ekisoboka okukola ku mbeera eno
N’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi ng’ayita mu bannamateeka be abakulembeddwaamu Fred Muwema bazzizzaayo foomu z’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.