Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni akuzizza Brigadier Henry Tumukunde okutuuka ku ddaala lya Lt. General mu magye
Lt Gen Tumukunde nga era yeyali akulira obukessi bwomunda mu ggwanga abuse eddaala lya Major General n’aweebwa erya Lt General.
Ono nga yalwana olutalo olwaleeleta gavumenti eriko mu buyinza yatabuka ne pulezidenti Museveni mu 2005 era n’akakibwa okulekulira nga omu ku bakiise b’amagye mu palamenti bweyawakanya pulezidenti Museveni okwesimbawo ku kisanja ekyokusatu.
Mu balala abakuziddwa kuliko Maj General Alexander akuziddwa okutuuka ku ddala lya Lt. General.
Mungeri yeemu amyuka omwogezi wa gavumenti Col Shaban Bantariza awumuziddwa mu magye.
Ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala ategezezza nti eno yenkola yaabwe nga bulijjo okusobozesa abaserikala okuwereza eggwanga lyabwe mu ngeri endala.
Abajaasi era basoose kusirikirira akabanga akagere okujjukira eyali ssabadumizi w’amagye Gen Aronda Nyakairima eyakafa gyebuvuddeko.