
Bannakibiina kya FDC bonna abanawagira eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick mu kalulu ka pulezidenti omwaka ogujja bolekedde okugobwa mu kibiina.
Kino kiddiridde ebiyitingana nti waliwo ab’aludda oluvuganya okuli nebannakibiina abasoba mu 300 abatinkiza n’eyali ssabaminisita Mbabazi neberabira owaabwe Dr Kiiza Besigye.
Omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda ategezezza nti yadde nga ssemateeka w’eggwanga awa bannakibiina ebbeetu okuwagira omuntu bbo gwebaagala , bakukozesa amateeka g’ekibiina okukangavvula bonna bakiwagi.
Ssemuju ategezezza nga bwebatajja kulonzalonza kugoba abo bonna bakiwagi.
Mu ngeri yeemu era Ssemujju ategeezezza nga bwebagenda okusigala nga bamanyisa abantu nti omukago gwa TDA tegulina yawangudde okwewala Mbabazi okubuzabuuza abantu nti y’akutte bendera y’omukago