Bya Ruth Anderah.
Waliwo banamateeka aba Muwema and company advocates kko ne Akampurira and partners abagenze ewa speaker Rebecca Kadaga nga bamusaba ayimirize okukubanya ebirowoozo ku bago lyeteeka erigenderedwamu okujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga okutuusa nga kooti ya ssemateeka ekoze ku musango ogw’atwalibwayo mu 2014.
Bano bagamba nti kugenda kuba kuvola ssemateeka singa bano bagenda mu maaso n’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno,ate nga waliwo omusango ku nsonga yeemu ogwawaabwa mu mwaka 2014 nga guno gwali gwakukugira NRM okuleeta omukulembeze asusizza emyaka 75.
Kinajukirwa nti omusango ogw’ogerwako gw’atekebwayo munna NRM George Alipanga era nga ono yali agaana parliament okukwata ku kawayiro kano number 102(b).
Bano ebaluwa gy’ebawadde speaker bagiwadeko namyuka ssabalamuzi Alphonse Owiny –Dollo nga baagala ayangguwe okukola ku musango gwa Alipanga opgumaze ebanga mu kooti.