Skip to content Skip to footer

Abavuganya gavumenti bazize olutuula, ngebbago ku myaka lisomebwa

Bya Kyeyune Moses

Abavuganya gavumenti mu palamenti nate bazizze olutuula lwa leero nga bwebalaliika, nga bawakanya ekyokugoba banaabwe mungeri gyebagamba nti emenya amateeka.

Okusinziira ku akulira oludda oluvuganya gavumenti, Winnie Kiiza basalawo okulaga obumu mungeri eno, nabo okuzira entuula ssatu ezo ezakaligibwa banaabwe, abaali bawakanya ebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Kakati entuula 3 zigwako olunnaku lwenkya.

Kakati abamu kuba NRM begazanyizza nebatuula nemu bifo ebyabavuganya gavumenti.

Leave a comment

0.0/5