Amawulire
Omusajja asazeeko muganzi we omutwe
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Rukiga enonyereza ku nfa yomuwala, agambibwa nti muganzi ye yeyamusazeeko omutwe.
Kyomuhangi Scovia owemyaka 26 okuva mu district ye Mitooma yasangiddwa, mu nyumba mwabadde asula, nga mufu nga kisubirwa nti mugenzi we Tushabomwe Ivan yeyamusse.
Poliisi etuuse mu kifo nejjayo ejambita nezimu ku ngoye zomusajja nga bijjuddeko omusaayi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Eli Matte akakasizza, ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.