Bya Ruth Anderah
Abantu abavunanibwa okumula eyali omwogezi wa poliisi Andrew F. Kaweesi basindikiddwa ku alimanda e Luzira, nga tebategedde na wa okunonyererza ku misango gyabwe wekutuuse.
Omuoamuzi we ddaal erisooka mu kooti ye Nakawa, Noah Sajjabi abasindise ku alimanda okutuusa nga October 24th 2017.
Abavunanwa 20 bavunanibwa okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau nomudereza Godfrey Wambewa.
Bino byonna biridde akediimo kabwaaabi ba gavumenti abatalabiseeko mu kooti olwalero.
Bano baziddwayo e Luzira gyebabadde bakumibwa okuviira ddala mu March womwaka guno.
kigambibwa nri bekobaana okutta abantu bano, ettemu eryogerwako nti lyaliwo nga 17th March 2017 e Kulambiro mu divisone ye Nakawa ku njegoyego za Kampala.